Poliisi y’e Nakasongola ekutte abasirikale 3 lwa kulagajjalira mirimu gyabwe, abantu mukaaga (6) ne battibwa mu nnaku mukaaga (6) zokka nga bonna batemeddwako emitwe.

Abakwate kuliko Inspector of Police Umar Ssenyonga akulira Poliisi y’e Wabigalo n’abalala babiri (2) okuli ategerekeseeko erya Odeke ne Otuke.

Ssenyonga ne banne bakwattiddwa ku biragiro bya dayirekita wa poliisi avunaanyizibwa ku bikwekweto, Asuman Mugenyi n’akulira bambega ba poliisi, Grace Akullo.

Mugenyi agamba nti abasirikale bakwattiddwa olw’okulemererwa okutuuka mu budde mu kifo abatemu webattidde Fred Bulega ne Fred Mujuni ku kyalo Kitego olunnaku olw’eggulo ku Mmande.

Mungeri y’emu Mugenyi agambye nti Ssenyonga ne banne tebabadde ku Poliisi mu kiseera nga abatemu batematema abantu, ekiraga nti wabaddewo obulagajjavu.

Ku lunnaku olwokuna sabiti ewedde nga 5, December, 2019 abantu okuli Lozio Matovu (90), Judith Odur (38), Amos Sekanza (7) ne Mesearch Mawanda (10) battibwa nga bonna batemwako emitwe.

Mugenyi agumizza abantu ku nsonga y’ebyokwerinda era abasabye okukolagana obulungi okunoonya abatemu.