Okutya kubaluseewo mu batuuze ku kyalo Kyajiija mu ggombolola y’e Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu olw’abantu abatamanyiddwa, okubasuulira ekibaluwa ‘kiro kitwala omunaku’ nga basuubiza okutta abatuuze eb’enjawulo.

Mu kibaluwa, basuubiza okutta abaana 5 n’abantu abakulu 10 okuli Joseph Keeya, Richard Katongole ne Joseph Balyakabona.

Ekibaluwa kiwandikiddwa mu luganda, nga bagamba nti balina okuddamu okutematema abantu, okwesasuza eky’okutta mukwano gwabwe Musa Ggaliwango eyali omu ku babbi eyattibwa omwaka oguwedde ogwa 2018.

Omu ku batuuze, abanokoddwayo okuttibwa Keeya, agambye nti ekibaluwa kyongedde okubatiisa olwa batuuze okujjukira ebyali e Masaka wakati wa 2017 – 2018, Ggaliwango ne banne we batematema abantu ne battibwa.

Abatuuze abalala bagamba nti mu kiseera kino, tebakyebaka ate abamu, batandiise okusenguka okunoonya gye bayinza okwekweka.

Ku nsonga eyo, Joseph Tukamuhebwa akulira Poliisi y’e Bukulula agambye nti Poliisi yafunyeko dda ku kibaluwa era okunoonyereza kutandiise, okuzuula abakulembeddemu okubitambuza.

Mungeri y’emu asabye abatuuze, okuyambagana okunoonya abasuubizza okubatematema.

Kinajjukirwa nti mu 2018, abatemu benyigira mu kutta abantu ssaako n’okubba mu bitundu bye Masaka.

Oluvanyuma, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, by’akola okunoonyereza Muhammad Kiddawalime naakwatibwa ate mukwano gwe Ggaliwango, abatuuze baamutta mu katawuni k’e Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu bwe yali ayingiridde omu ku batuuze okubba n’okumusobyako.