Poliisi y’e Sembabule ekutte owa Local Defence Unit-LDU ku misango gy’okutta omusirikale mu kiro ekikeseza olwa leero ku Lwokuna nga 30, Janwali, 2020.
Jamada Luwaga nga mutuuze ku kyalo Rugusuulu yakwatiddwa ku by’okutta Corporal Gerald Olweny myaka 32 abadde omusirikale ku Poliisi y’e Rugusuulu.
Okusinzira kw’addumira Poliisi y’e Sembabule (DPC) Denis Musinguzi, Luwaga yabadde agenze ne Olweny okukwata Deo Tumusiime mu katawuni k’e Rugusuulu ku misango gy’obubbi.
Omu ku batuuze abeerabiddeko ng’ettemu likolebwa Jane Rwansande agamba nti Olweny yakonkonye oluggi lwa Tumusiime okumukwata kyokka Lwanga yabadde akutte emmundu ekika kya AK47.
Rwansande agamba nti Tumusiime yagguddewo oluggi, Olweny kwekumukwata ku mpale kyokka oluvanyuma omusibe yayagadde okwesimatula ku musirikale okudduka kyokka musirikale Olweny yamusinzizza amaanyi bonna ne baggwa ku ttaka.
Omukyala Rwansande era agamba nti wakati mu kulwanagana ng’omusirikale Olweny ali ku ttaka, owa LDU Lwanga yakubye essasi ku ttaka, eryakutte Olweny mu kifuba naavaamu omusaayi omungi era naafiirawo nga n’omusibe Tumusiime yakoseddwa nnyo ku mukono.
DPC Musinguzi agambye nti wadde Lwanga akwattiddwa poliisi, okunoonyereza ku ngeri Olweny gye yattiddwamu kutandikiddewo mbagirawo.