Poliisi y’e Bulambuli ekutte abantu 5 ku by’okwenyigira mu ddiiru ey’okugula n’okutunda emmundu ekika kya SMG UG Pol 65075HF mu Tawuni Kanso y’e Buyaga.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Elgon, Robert Tukei, waliwo omu ku batuuze eyatemezza ku poliisi ku ky’okutunda emmundu era amangu ddala abasirikale baasitukiddemu ne bagendayo, gye bazuulidde emmundu n’okukwata abantu 5.
Tukei agamba nti omu ku bakwate muvubuka ali mu myaka 19 eyali omukuumi mu kitongole ky’obwananyini ekya Pinnacle Security Limited era omutuuze ku kyalo Linda mu ggombolola y’e Nalusala mu disitulikiti y’e Sironko nga yabadde atunda emmundu shs 1,200,000.
Abalala abakwatiddwa kuliko abavubuka 3 n’omukyala myaka 38 nga bonna batuuze b’e Sironko ne Bulambuli ku by’okwagala okugula emmundu.
Abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Mbale ku misango gy’okusangibwa n’ebintu bya Gavumenti mu ngeri emenya amateeka ate omuvubuka eyali omukuumi ali ku Poliisi ku misango gya kubba mmundu.