Kyaddaki kkooti y’amaggye eyimbudde abantu 4 abaali bakwatibwa n’eyali addumira Poliisi mu ggwanga Gen. Edward Kale Kayihura ku misango gy’okuyambako okukwata bannansi ba Rwanda okubazaayo mu ggwanga lya Rwanda ku buwaze.

Abakkiriziddwa okweyimirirwa, bonna baali basirikale mu kitongole ekya Flying Squad okuli eyali addumira ekitongole kya Poliisi ekikwatisa empisa Richard Ndaboine ssaako ne banne Patrick Muramira, Jonas Ayebaza ne Abel Kitagenda.

Bonna basabiddwa obukadde 20 ezitali za buliwo n’obukadde 20 era nga ssi za buliwo eri buli muntu gwe baleese okubeyimirira.

Mu kkooti, ssentebbe akubiriza kkooti y’amaggye Lt. Gen. Andrew Gutti agambye nti bonna 4 batuukirizza ebisanyizo okubakkirizza okweyimirirwa.

Ssentebbe Gutti era abalagidde nti mu kutambula, tebalina kusukka Wakiso na Kampala era balina okudda mu kkooti okweyanjula nga wayiseewo ennaku 14 zokka.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, abavunaanibwa wadde bayimbuddwa, nga 25, Ogwomwenda, 2013 bakwata Jackson Kalemera ne Lt. Joel Mutabazi eyali omukuumi w’omukulembeze w’eggwanga erya Rwanda  Paul Kagame ne bazibwayo mu ggwanga erya Rwanda ku buwaze, ekintu ekimenya amateeka.

Lt.Mutabazi baamukwatira Kamengo mu disitulikiti y’e Mpigi nga bwe yatuusibwa mu ggwanga erya Rwanda yaggulwako emisango gy’obutemu, obutujju, okusasaanya obulimba n’ekigendererwa eky’okutabangula Gavumenti y’e Rwanda.