Poliisi mu ggwanga erya Kenya ekutte omukyala ku by’okusobya ku mwana omulenzi myaka 2 n’ekitundu mu bitundu bye Nyahururu mu bukiika kkono bwa Nakuru.

Omukyala myaka 23 abadde mukozi w’awaka yakwattiddwa oluvanyuma lwa mukama we, okwekebejja kkamera y’omu nnyumba ng’ali ku mwana we, amusobyako.

Mu kkamera, omukyala yasoose kwe kwatakwata mu bitundu by’ekyama oluvanyuma kwe kudda ku mwana, okumwambula n’okumusobyako.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu bitundu bye Nyahururu, Geoffrey Mayek, omukyala baamulekedde omwana ku kyalo Karuga sabiti ewedde ku Lwokutaano.

Poliisi egamba nti abazadde, bategedde ensonga akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande oluvanyuma lw’okwekebejja Kkamera era omukozi yakwattiddwa dda ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.