Omuwala myaka 17 ali mu maziga olwa Pasita Kingsley Emaka Mokwunye owa Living Faith Church engeri gy’abadde amusobyako.
Omuwala bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu kibuga Benin City mu ggwanga erya Nigeria, agambye nti Pasita Emaka abadde amuwa omwenge oluvanyuma namusobyako.
Omuwala agamba nti Pasita abadde amusobyako okuva mu September wa 2019 oluvanyuma lw’okumala ebigezo ddaala lya secondary.
Asabye Poliisi okukwata Pasita Emaka kuba musajja muzibu nnyo wadde yefuula omusajja omulungi ennyo eri abantu mu kkanisa.
Taata w’omwana Paul Obidah nga ye ssentebe w’olukiiko olukulembera ekkanisa ya Pasita Emaka agambye nti naye asobeddwa olwa Pasita Emaka okudda ku mwana we okumusobyako era asabye Poliisi okunoonyereza ku nsonga eyo.
Mungeri y’emu agambye nti Pasita Emaka abadde amutwala ng’omuntu w’awaka kyokka okusobya ku mwana we, alaze nti musajja musiru nnyo era agwanidde kuvundira mu kkomera.