Omuyimbi Bruno K alaze nti mu ggwanga Uganda, munnamawulire Faridah Nakazibwe owa NTV y’omu ku mikwano gye.

Okuva ku ntandiikwa y’omwaka guno ogwa 2020, wabaddewo ebigambo ebyogerwa nti Faridah ali mu laavu ne Bruno K kyokka tewali muntu yenna alina bukakafu.

Sabiti ewedde ku Lwokutaano, Bruno K bwe yali mu Pulogulamu ‘Mwasuze Mutya’ ku NTV ne Faridah, yategeeza nti ye okuba mukwano gwa Faridah, y’emu ku nsonga lwaki abantu bagamba nti bali mu laavu kyokka buli muntu alina eddembe lye okwogera ebigambo.

Wabula Bruno K alaze nti ebigambo by’abantu tebigenda kumuggya ku mulamwa era afulumizza oluyimba lw’omukwano olutuumiddwa ‘Faridah’ okulaga nti erinnya Faridah limukolera nnyo mu kiseera kino.

Vidiyo okuva ku Face Book

Mungeri y’emu atadde vidiyo ye ne Faridah ku Face Book nga bali bombi, ayimba oluyimba Faridah, okulaga abantu oba kibaluma kibalume.

Oluyimba Faridah