Poliisi ekutte abantu bataano (5) ku by’okuwamba abantu bataano (5) nga bonna ba famire emu mu disitulikiti y’e Amuru, akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande nga 9, March, 2020.

Abaawambiddwa kuliko ssemaka  Wilson Kinya myaka 60 ne batabani be bana (4) okuli Tolbert Mwaka, 30, Aron Oringa, 27, Simon Omony, 20 ne Simon Komakech 18 ku kyalo Giragira mu ggombolola y’e Lamogi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Aswa Jimmy Patrick Okema, famire yonna yalumbibwa abantu abakutte ebijjambiya n’ebyambe nga bakulembeddwamu Richard Okello ssaako ne munne ategerekeseeko erya Dwala kyokka bonna mu kiseera kino baliira ku nsiko.

Okema agamba nti oluvanyuma lw’okukwata abamu ku bagambibwa okwenyigira mu kuwamba, abaana bonna banunuddwa kyokka kitaabwe akyabuze.

Abakwattiddwa kuliko Christopher Kolorach, 49, Sunday Oloya, 37, James Otura, 45 ne David Ocaya myaka 25 nga bonna bali ku kitebe kya Poliisi mu disitulikiti y’e Amuru nga Poliisi bwenoonyereza okuzuula ekituufu.