Kkooti mu ggwanga erya Kenya, erangidde nga 27 omwezi gunno Ogwokusatu, okuddamu okuwuliriza omusango gw’omuwala, eyakwattiddwa ku misango gy’okuyonsa omwana wa mukama we.

Omuwala Catherine Mbuyuka myaka 20 yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande oluvanyuma lwa mukama we okwekebejja kkamera eziri mu nnyumba.

Mu kwekebejja Kkamera, omukyala yakizudde nti Mbuyuka abadde omukozi w’awaka abadde yegumbulidde okutulugunya omwana we ssaako n’okumuyonsa ate nga akimanyi bulungi nti mulwadde wa siriimu.

Omwana abadde ayonsebwa mulenzi alina emyaka 2 era kigambibwa abadde amuyonsa buli lunnaku.

Wabula bw’asimbiddwa mu kkooti, wadde akatambi kalagiddwa omulamuzi, omukozi yegaanye emisango era asabye omulamuzi okweyimirirwa.

Omulamuzi JM Macharia akirizza okusaba kwe era amuyimbuddwa kakalu ka kkooti ka mitwalo 30 omusango, nagwongezaayo okutuusa nga 27, Omwezi gunno.