Aba Kampuni ya Hariss International Limited abakola ebintu bya Riham badduukiridde omulanga gw’omukulembeze w’eggwanga okwokuvaayo okuyamba, mu kiseera kino eky’okulwanyisa ‘Corona Virus’ okusasaana.

Aba Hariss bawaddeyo emmotoka ya ambulensi, obukadde bwa ssente 100 ssaako ne bookisi z’amazzi ne bisikwiti 100.

Mu kuwaayo ebintu, Aba Hariss bagamba nti olw’abantu y’emu ku nsonga lwaki basobodde okuwangala ssaako n’okuyiiya ebintu ebipya.

Mungeri y’emu bajjukiza abantu okwegatta mu kiseera kino okulwanyisa Kolona nga bayita mu kuteeka mu nkola ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga ne Minisitule y’ebyobulamu.

Mu kiseera kino, Kkampuni ez’enjawulo zivuddeyo okuwa obuyambi nga ne Ssabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II yasitukiddemu bwe yawaddeyo obukadde 100, ensawo z’akawunga ssaako n’ebintu ebirala.