Bya Zainab Ali

Omubaka wa Monicipaali y’e Jinja East Paul Mwiru ayanjulidde Palamenti ebbago akawungeezi ka leero, nga ligendereddwamu, okuteeka ekkomo ku busosoze bwe kituuka mu kuwa emirimu gya Gavumenti kuba kiyinza okutabangula eggwanga.

Mu Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Kadaga, Mwiru agambye nti etteeka lyetaagisa okutebenkeza ekisaawe ky’emirimu.

Omubaka Paul Mwiru
Omubaka Paul Mwiru

Bw’abadde anyonyola eri Palamenti, Mwiru agambye nti mu kiseera kino abasinga okufuna gya Gavumenti emisava basibuka mu kitundu kye kimu, era bangi ku bannansi bakooye ebigenda mu maaso mu nsi yaabwe nga betaaga etteeka, okutereeza ekisaawe ky’emirimu.

Mu tteeka, ayagala emirimu gigabwe okusinzira ku bitundu ebiri mu ggwanga nga kyakuyamba okuteekawo obw’enkanya.

Eddoboozi Lya Mwiru

Ate nga tusemberedde okulonda kwa 2021, Mwiru ayagala emisango gyonna eginaava mu by’okulonda, okuwulirwa mu nnaku 45 zokka.

Agamba nti waliwo abenyigira mu kutabangula eby’okulonda nga basuubirwa nti kkooti zakulwawo, okusala emisango.

Ayagala mu nnaku 45 ng’emisango gyonna giwuliddwa, abalondeddwa okutandiika okuwereza abantu baabwe.