Bannamateeka ba Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni bakkiriza Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP)Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuggyayo omusango mu kkooti ensukkulumu.

Bannamateeka ba Museveni begatiddwako ab’akakiiko k’ebyokulonda ssaako ne Ssaabawolereza wa Gavumenti era bagamba nti Kyagulanti waddembe okuggyayo omusango gwe, gwe yali yatwalayo ng’awakanya obuwanguzi Mukulu Museveni.

Mungeri y’emu bagamba nti newankubadde Kyagulanyi waddembe okuggyayo omusango, ensonga zeyawa omuli kkooti okulaga nti, okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti ne ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo okusisinkana mukulu Museveni emirundi egisukka 3, tebakaanya ku nsonga ezo.

Bannamateeka bagamba nti ekisigalidde kwekulinda kkooti ensukkulumu okusalawo ku nsonga ya Kyagulanyi kyokka ensimbi ze basaasanyiza mu musango bukya gutandiika, Kyagulanyi talina kweyibaala.

Akulembeddemu Bannamateeka ba Muzeeyi Museveni Usama Ssebuwufu agamba nti kati balinze kkooti okusalawo kukuba kwa Kyagulanyi.

Munnamateeka Usama

 

Kino kitegeeza Kyagulanyi wadde okufuna ku ssannyu e Magere ssaako n’abawagizi ba NUP mu ggwanga kuba Museveni akkiriza okusaba kwe okuggyayo omusango mu kkooti ensukkulumu.

Mu mateeka, Museveni waddembe okugaana okusaba kwa Kyagulanyi mu kkooti wabula bannamateeka be bagamba nti Kyagulanyi talina bujjulizi era y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okuggyayo omusango.