Abantu 3 battiddwa mu kabenje k’emmotoka ate 7 batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.

Akebenje kavudde ku takisi ebadde ku misinde okutomera abantu nga bali ku bodaboda mu maaso g’essomero lya Luweero Boys Primary School mu Tawuni Kanso y’e Luweero ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu emisana ga leero.

Takisi namba UBJ 164M eyakazibwako erya ‘Drone’ yetomedde bodaboda namba UEG 809E.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero Abraham Tukundane, abafudde kuliko obwa bodaboda, Kondakita ssaako n’omu ku basaabaze akutuse, nga bakamutuusa mu ddwaaliro e Luweero.

Tukundane agamba nti owa Takisi okuvuga emisinde egisukkiridde y’emu ku nsonga evuddeko akabenje.

Related Stories
GIWUNYE! Poliisi ekutte 10 ku misango gy’okubba n’okutta abantu n’emmundu, omukyala akubye omulanga

Ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi, SFC, CMI mu bitundu bya Savannah omusangibwa Luwero, Nakasongola ne Read more

Fire Destroys Condoms, Mosquito Nets At JMS Ware House In Industrial Area

Fire Destroys Condoms A fast spreading fire has on Friday afternoon gutted ware houses on Read more

Abamu ku bafunye ebisago abatwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa kuliko Moses Kawuki, Sharifah Kanyike ne Sophia Kizza nga bonna batuuze mu katawuni k’e Luweero.


READ  GIWUNYE! Poliisi ekutte 10 ku misango gy'okubba n'okutta abantu n'emmundu, omukyala akubye omulanga