Poliisi y’e Amuru ekutte ssemaka ku misango gy’okutta mukyala we lwa kweyambisa ‘family planning pill’ mu bubba.

Robinson Ojok yakwattiddwa ku by’okutta Beatrice Amito omukyala gw’abadde yakazaalamu abaana musanvu (7).

Kigambibwa akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga, Amito yageenda mu katawuni akali okumpi n’awaka era yagenda okudda ng’amize akakerenda ka ‘Family Planning’ okwetangira okufuna olubuto.

Omusajja Ojok yatabukira omukyala kwe kumukuba era omukyala Amito yafiira mu kkubo nga bamutwala mu ddwaaliro lya Lacor Health III mu Tawuni Kanso y’e Pabbo.

Oluvanyuma lw’omukyala okufa, abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’ekyalo Charles Openy baakutte Ojok ne bamukwasa Poliisi ku kyalo Pabbo.

Patrick Jimmy Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa, agambye nti Ojok aguddwako emisango gy’okutta omuntu era okunoonyereza kutandikiddewo.

Mungeri y’emu Poliisi ekutte Bosco Anywar ssentebe w’ekyalo Larego mu ggoombolola y’e Ajan mu disitulikiti y’e Pader ku misango gy’okutta mukyala we n’okulumya mutabani we.

Omukyala Lilly Atto myaka 30 yakubiddwa ekintu ku mutwe era yafiiriddewo ate mutabani we myaka 15 ali mu ddwaaliro lya Jafo Health Centre ku kyalo Atanga okufuna obujanjabi.

Tai Ramathan, addumira Poliisi mu bitundu bya Pader agambye nti Anywar ali mu mikono gyabwe ku misango gy’okutta omuntu.