Poliisi y’e Kakumiro ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’okutuga owa bodaboda ne batwala pikipiki ye oluvanyuma lw’okuttibwa.

Adam Baguma myaka 20 abadde omutuuze ku kyalo Kyakinaka mu ggoombolola y’e Bwanswa mu disitulikiti y’e Kakumiro, attiddwa mu kiro ekikeseza olwa leero era omulambo gwe gusangiddwa nga gusuuliddwa ebbali w’ekkubo ku kyalo Kyabisenge mu Tawuni Kanso y’e Kakumiro.

Omulambo gusangiddwako enkwagulo ku bulago ng’emikono gyombi, ekiraga nti bamunyodde ensingo wakati mu kulwanagana era Pikipiki eyatwaliddwa kika kya Bajaj namba UFE 594L.

Julius Hakiza

Wabula Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agamba nti wadde Baguma yattiddwa mu kiro, omulambo gwe gulabiddwa abatuuze enkya ya leero, abakedde okutambuza emirimu gyabwe.

Hakiza agamba nti amangu ddala Poliisi eyitiddwa okuggyawo omulambo, kyokka mu kunoonyereza okusookerwako abantu 3 bakwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu ssaako n’obubbi, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Abakwate wadde Poliisi egaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe, batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kakumiro ssaako n’omulambo mu ddwaaliro ekkulu e Kakumiro okwekebejjebwa.