Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kizinga kye Nkose mu ggoombolola y’e Mazinga mu disitulikiti y’e Kalangala, omutuuze bw’asangiddwa nga yetidde mu muzigo mwabadde apangisa.
Omulambo gwa Kiwanuka Nicholas myaka 33 gusangiddwa nga gulengejja ku muti era okwetta yasobodde okweyambisa omuguwa.
Mu nnyumba, musangiddwamu ekiwandiiko Kiwanuka kyewandiise ng’asemberedde okwetta, era agambye nti ‘asobodde okuddayo eri nnyina kyokka tasuubira nti ayinza okumujjukira’.
Mungeri y’emu agambye nti wadde abadde musajja nga mulungi nnyo mu nsonga z’omu kisenge, ku nsi talese mwana yenna wadde omukyala.
Omugenzi abadde muvubi ku kizinga kye Nkose era abatuuze bagamba nti abadde akooye, okumira eddagala eriweweeza akawuka ka sirimu ng’abadde yalivaako omwaka mulamba.
Wabula Kakuuta Rodgers Akankwasa akulira Poliisi y’e Nkose e Kalangala agambye nti omulambo gutwaliddwa e Kabonera mu disitulikiti y’e Masaka okuziikibwa nga Poliisi bw’enoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko okwetta.