Dr. Hamzah alidde waaya, akutte Kenzo ne Rema mu loogi e Kireka mu kaboozi, mu ngeri y’okwejjukanya.

Katemba abadde ku loogi ya TS mu bitundu bye Kireka, omuyimbi Rema Namakula omusajja bw’amukwattidde mu bwenzi.

Dr. Hamzah Ssebunya akutte Rema ng’ali mu kaboozi Eddy Kenzo era bambi asigadde asobeddwa.

Rema yayanjula Dr. Hamzah mu bazadde mu November wa 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka ku mukolo ogwetabwako abakungu ab’enjawulo.

Wabula (Rema ne Hamzah) wadde bali mu ssanyu, amawulire galaga nti abamu ku famire y’omusajja banyivu nga bagamba nti Rema akyagaanye okuzaalira mutabani waabwe omwana.

Mu bufumbo bwa Hamzah, Rema yagenda n’omwana wa Kenzo kyokka aba famire y’omusajja bagamba nti wadde Rema Sereebu, akkirize okuzaalira mutabani waabwe kuba akyali muvubuka muto era asobola bulungi nnyo okulabirira omwana we.

Wabula waliwo ebigambibwa nti Dr. Hamzah ayinza okuba alina obuzibu mu nsonga z’okuzaala era mbu y’emu ku nsonga lwaki akyalemeddwa okuwa Rema olubuto.

Ate waliwo abagamba nti Rema alinze mbaga okuzaalira Dr. Hamzah omwana era mu kiseera kino ali ku nkola za ‘Family Planning’, ezimutangira okufuna olubuto.

Sarah ayogedde.

Omu ku mikwano gya Rema ategerekeseeko erya Sarah agamba nti wadde Rema yafuna obutakaanya ne Kenzo, omusajja yali amwagala era yamusigala ku mutima nga y’emu ku nsonga lwaki yatwala omwana we, okulekawo enkolagana.

Sarah agamba nti Rema abadde asisinkana Kenzo mu kyama era baludde nga bali mu laavu mu nkukutu kuba atya bba Dr, Hamzah okukimanya era okumukwatira mu Loogi nga bali mu kaboozi, tayinza ku kyewuunya.

Agamba nti Rema abadde asindikira Kenzo mesegi za laavu n’okumukubira essimu era Rema alina layini y’essimu ey’ekyama.

Kamya abotodde ekyama.

Kamya nga y’omu ku mikwano gya Kenzo agamba nti okuva 2020, Rema abadde ayogera ne Kenzo ku ssimu ku nsonga ez’enjawulo.

Kamya agamba nti wadde Rema yafuna omusajja omulala naye omutima guli wa Kenzo kuba kirabika musajja ategeera ensonga z’omu kisenge era okubakwata nga bali mu loogi, tayinza kukyewunya.

Njagala okutegeeza emboozi eno yonna ya bulimba, olunnaku olwaleero 1, April, lunnaku lwa kulimba mu nsi yonna (Fools Day). Kenzo ali ku mirimu gye nga ne Rema ali mu bufumbo bwe, byonna byosomye byabulimba

Okumanya birala ebifa mu ggwanga.https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/562108258030053