Uganda ekkirizza nti bigiyinze, yetaaga buyambi, okutaasa abantu okufa Covid-19 abali mu mbeera embi nga betaaga ‘oxygen’.

Akawungeezi ka leero, Minisitule y’ebyobulamu efulumizza ebyavudde mu kwekebejja abantu ku Mmande nga 14, omwezi guno Ogwomukaaga era abantu 1,110 bazuuliddwa nti balwadde.

Minisitule era agamba nti ku lunnaku lumu, Uganda yafiiriddwa abantu 49.

Mu kiseera kino Uganda, erina abantu abasukka mu 900 abetaaga ‘oxygen’ nga singa ayongera okubula, bonna bayinza okufa.

Wabula okusinzira ku Minisita wa ‘Science’, Tekinologye n’okuyiiya era abadde omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebyobulamu Dr Monica Musenero, agamba nti Uganda yetaaga kuyambibwa, okusobola okutaasa obulamu.

Dr. Musenero agamba nti bali mu ntekateeka okuwandikira amawanga agali ku mulirwano okuyamba Uganda okufuna ‘oxygen’ ayinza okutaasa abantu abali mu mbeera mbi kuba ekiri mu Uganda, kyongedde okweralikiriza.

Mungeri y’emu alabudde abantu obuteyambisa ‘oxygen’ maka gaabwe nga kiyinza okuba eky’obulabe mu kaseera kano ak’okulwanyisa Covid-19.

Mu nsi yonna, abantu abazuuliddwa nga balina Covid-19 bali 177,559,790, abafunye obujanjabi 162,032,091 ate abaakafa 3,840,527.
Mu Uganda, Minisitule y’ebyobulamu yakazuula abantu 64,521 abalwadde ate yakafiisa 459.

Ate omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago azzeemu okulonda munnakibiina munne owa FDC era Kansala we Makerere mu lukiiko lwa KCCA Doreen Nyanjura, okumumyuka ku bwa Loodi meeya bwa Kampala.
Kansala Nyanjura bakedde kumwanjula mu lukiiko era bakansala bonna bakaanyiza kimu nga nkuyege ne bakkiriza erinnya lye.
Nyanjura olumaze okulayira, asuubiza okuyimusa eddoboozi ly’abakyala, okusoosowaza ensonga z’obutale, okulwanirira omuntu wansi, ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu, ekyongedde okuwa Bakansala akamwenyumwenyu.
Mungeri y’emu Lukwago alonze Kansala Johnmarry Ssebufu nga Minisita w’ebyensimbi, Kansala Namazzi Olive nga Minisita w’ebyenjigiriza, ebyobulamu ne by’emizannyo ate Kansala Hakim Kizza alondeddwa ng’omuwandiisi.
Lukwago agamba nti bonna abalondeddwa bakugu era bagenda kuyamba nnyo mu kutambuza emirimu.
Mungeri y’emu ajjukiza Bannakampala okwekuuma wakati mu kulwanyisa Covid-19 ayongedde okuwanuka amatanga.
Akubidde Gavumenti omulanga, okwanguwa mu kuleeta ebyetaagisa, omuli eddagala, Ambulensi okutambuza abalwadde ssaako n’ebyeyambisibwa mu kukebera abantu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2964878360397401