Kkooti enkulu mu Kampala eyongezaayo okutuusa olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano nga 3, omwezi guno Ogwomwenda, 2021, okuwuliriza emisango egivunaanibwa omubaka we Kawempe North munna NUP Muhammad Ssegirinya egikwata ku byokulonda.

Sulaiman Kidandala, yaddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya obuyigirize bwa Ssegirinya n’engeri gye yasunsulwamu akakiiko k’ebyokulonda kwe kusaba kkooti, okusazaamu obuwanguzi bwe.

Ebiri mu kkooti, biraga nti Ssegirinya tewali yamutegezaako nti mu kkooti alina omusango gw’ebyokulonda, nga y’emu ku nsonga lwaki, omusango tegusobola kugenda mu maaso.

Wabula enkya ya leero, mu maaso g’omulamuzi Wolayo Henrietta bannamateeka ba Kidandala nga bakulembeddwamu Kenneth Paul Kakande basabye omulamuzi olukusa, okubakkiriza okuleeta ebitabo okuva mu kkomera e Kitalya, ebiraga nti Ssegirinya yategeezebwako nga mu kkooti bw’alina omusango, mu kiseera ng’ali ku limanda mu kkomera e Kitalya.

Ssegirinya yali yakwattiddwa ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu, bwe yali yekalakaasa mu Kampala okusaba okuyimbula bannakibiina ki NUP abaali baakwattibwa mu biseera by’okulonda.

Wabula omulamuzi alagidde enjuyi zombi okutuula bakaanye ku nsonga y’okufuna obujjulizi oba ddala Ssegirinya yategeezebwako nti mu kkooti, alina emisango gy’okulonda.

Omusango guddamu olunnaku olw’enkya era munnamateeka Kakande agamba nti, balina okulemerako.

Ate Kidandala eyatwala Ssegirinya mu kkooti nga naye akyalina essuubi okuwangula omusango okufuna ku bukadde 200 okwegulira ku mmotoka agamba nti yagudde mu lukwe nti waliwo abalemeddeko nga basabirira omulamuzi agobe omusango mu kkooti.

Kidandala agamba nti singa Ssegirinya asigala mu Palamenti n’ebiwandiiko ebikyamu, kabonero akalaga nti ebyenjigiriza bigenda kudobonkana, okuswaza ekitongole ky’ebyenjigiriza, ekitongole ekiramuzi ssaako ne Gavumenti.

Kidandala agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kaakola ensobi okuviira ddala ku ntandikwa mu kuwandiisa Ssegirinya nawandisibwa, ng’alemeddwa okunoonya emikono egyetaagisa.

Wabula Ssegirinya agamba nti ebiwandiiko byonna ebyetaagisa okuwangula omusango abirina era tewali ayinza kumulemesa mirimu gya Palamenti.

Ebiwandiiko bya Ssegirinya!

Mu biwandiiko ebyava mu kitongole ky’ebigezo ekya Uganda National Examinations Board (UNEB), biraga nti mu ebigezo bya S4 mu 2007 ku Index Number U0053/054, Ssegirinya agamba nti  yabikolera mu Pimbas Secondary School ate ebiri mu UNEB biraga nti Index Number eyo ya muwala Sarah Nampiima eyatuulira ebigezo mu Mengo Secondary School.

Ate ebya S6, ebiwandiiko bye biraga nti S6 yagituulira ku Index Number UOO54/754 mu ssomero lya Pimbas S.S mu 2009, ebya UNEB biraga nti eyatuulira mu nnamba eyo ye Maureen Nabadda era nga naye yatuulira ebigezo mu Mengo Secondary School mu Kampala.

Ebyava mu UNEB!

Mu ngeri y’emu UNEB egamba nti ennamba U0054 ya Mengo Secondary School, ssi Pimbas Secondary School wabula agamba nti alina ebiwandiiko ebituufu era alinze kubyanjulira kkooti.

Ebyava mu Kulonda!

Mu kulonda nga 14, Janwali, 2021, Ssegirinya eyali alina kaadi ya National Unity Platform (NUP) yakawangulira waggulu n’obululu 41,197 n’addirirwa Kidandala eyafuna obululu 7,512. Tom Fisher Kasenge owa National Resistance Movement (NRM) yakwata kyakusatu n’obululu 6,946 ate Latif Ssebaggala Ssengendo eyali akiikirira ekitundu ekyo mu Palamenti n’akwata kyakuna n’obululu 3,919.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UM8TYJbM9g0