Ababbi b’ente basatu (3) battiddwa e Karimojong. kigambibwa ababbi batuuze mu disitulikiti y’e Kotido era battiddwa mu kikwekweeto ekyakoleddwa Poliisi n’amaggye mu ggoombolola y’e Lopei mu disitulikiti y’e Napak.

Michael Longole, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Karamoja agambye nti ababbi battiddwa Poliisi n’amaggye ku Lwokutaano ekiro oluvanyuma lw’okuwanyisiganya amasasi.

Longole agamba nti ababbi baabadde mu ntekateeka okubba mu Napak era ab’ebyokwerinda bazudde emmundu namba 1970CT7312 n’amasasi 47.

Poliisi egamba nti ababbi babadde beyongedde obungi mu kitundu kyabwe era waliwo abantu bangi abattiddwa ne batwala ebisolo omuli ente.

Longole alabudde ababbi abakyagaanye okuwaayo emmundu eri ebitongole ebikuuma ddembe nti mu kiseera kino tewali kubattira ku liiso.

Mary Nakiru, omu ku batuuze mu ggoombolola y’e Lopei mu disitulikiti y’e Napak asigadde yewuunya lwaki ababbi balemeddeko okweyongera okubba mu kitundu kyabwe wakati mu byokwerinda ebyeyongedde ebya Poliisi n’amaggye.

Joseph Lemukol, nga naye mutuuze ku kyalo Kautakou agambye nti Gavumenti erina okulangirira ebiseera bya kazigizigi e Karamoja, kiyambeko abantu okweddako naye bakooye obubbi mu kitundu.

Mungeri y’emu awanjagidde abatuuze abalina emmundu, okuziwaayo mu bitongole ebikuuma ddembe.