Ekitongole kya Poliisi kifulumiza obukwakulizo 20 obulina okugobererwa bannayuganda bonna okusobola okwetangira abatujju abatadde eggwanga ku bunkenke nebasaba okubigoberera bunnambiro.
Omulungamya wa poliisi n’omuntu wabulijjo afande Asan Kasingye agambye nti newankubadde poliisi n’amagye batadewo enteekateeka ez’enjawulo okulwanyisa obutujju obutandise okusensera eggwanga naye n’abantu babulijjo batekeddwa okubeera obulindaala nga bagobera amateeka agalwanyisa obutujju naddala gebataddewo mu kiseera kino.
Kasingye agamba nti obutujju by’ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka ebikolebwa n’ekigendererwa eky’okutuusa obulabe ku gavumenti n’okutisatiisa abantu olwe’nsonga ez’enjawulo okuli eby’obufuzi, eddiini n’ebyenfuna ng’ababikola tebafaayo ku bulamu bw’abantu balala wadde ebintu byabwe.
Obutujju bweyolekera mu ngeri ezenjawulo okuli okuteega n’okutulisa bbomu, obutemu, okuwamba abantu, okwookya ebintu, n’okulumbisa emmundu n’ebikolwa ebirala
Ekirubirirwa kyaabo abenyigira mu butujju kuba kuteeka kutya bantu n’okunyooma gavumenti
Kasingye era agamba nti, “nga gwe omuntu wa bulijjo gwe asokerwako okunyweza eby’okwerinda era osobolera ddala okuziyiza ebikolwa bino ng’okola bino wamanga”.
Ebiragiro kuliko
1. Amaaso go ky’eky’okulwanyisa ekisinga mu kulwanyisa obutujju. Bw’olaba ekintu kyewekengedde, tegeeza abakulembeze bo ab’okubyalo abasokerwako oba kubira Police y’omukitundu kino oba ku nnamba zino ezittali zakusasulira okuli, 112, 999, 0800199699, 080012229
2. Beera bulindaala n’okumanya ebyo ebikwetoloodde
3. Manya enneyisa y’abantu ettali ya bulijjo
4. Bw’oba otambulira mu ntambula ey’olukale, fuba okulaba nti buli muntu alinye akebeddwa, wetegereze nyo emiguggu egitafiriddwako n’enneyisa y’abasabaze bano era fuba okulaba nti buli muntu yeyanjula n’omuguggu gwe
5. Tokkiriza ebitereke oba emiguggu okuva mu basabaze botamanyi
6. Tolekawo omuguggu oba ekitereke kyonna nga tekifiriddwako
7. Bw’obera mu kizimbe kyonna, sooka ononye ekkubo n’amaddaala agakufulumya weggali era lowooza ne ku ngeri gy’oyinza okufuluma ekizimbe kyonna oba ekifo ekirimu abantu abangi
8. Ffuba nyo okwetegereza eby’okwerinda bya mulirwana wo era mannya ebibakwattako n’emirimu gyebakola
9. Bulijjo wekebejje enyumba yo oba ekifo wokolera ng’ononya obubonero obulaga oba waliwo ekitereke oba ekintu kyonna kyewekengera
10. Tokkiriza abantu abalongoosa n’abo abatuusa empereza ezenjawulo okuli amazzi, amasanyalaze n’empereza endala okuyingira oba okubaako kyebakola mu kifo wokolera oba w’ossula nga tobalondedde
11. Ffuba okuyiwaayo obusero oba ebintu omubeera kasasiro buli kaseera era wegyeko n’ebintu byonna ng’ebyuma by’otakozesa
12. Tokkiriza abagenyi abayingira mu maka go oba yafeesi yo okutuuka buli wamu nga tobalaba
13. Kkuuma amaka go, ekifo wokolera n’ebifo eby’olukale nga binyirira kubanga kino kiyambako okumanya ebintu ebisuliddwawo ebiyinza okuba bbomu oba ebyo eby’obulabe
14. Ffuba okulaba ng’amattaala mu yafeesi oba amaka go ne mu bifo eby’olukale nga ggaaka bulungi
15. Kkatiriza ensonga y’abantu abakukyalira mu maka go ne mu bifo gy’owangalira nga beyanjula
16. Nnonyereza ebikwata ku bantu abajja mu maka go naabo bosanga mu bifo byona eby’olukale
17. Obukiiko bw’okubyalo bulina okuwandiika abatuuze bonna n’abagenyi ababakyalira
18. Abasubuzi naddala abali mu mafutta, abakozi ba mobile money okwetegereza ku bantu abagyayo ssente ezittali za bulijjo
19. Mutuuze enkiiko z’ebyalo buli kadde okukubaganya ebirowoozo ku by’obutebenkevu n’eby’okwrinda bw’ebitundu
20. Muteeka kkamera ekkessi mu bifo eby’olukale okuli apartments, Hotels, ebifo gyemukolera, amasinzo n’ebissulo okuyambako okunyweeza eby’okwerinda.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=V0JI9vD8WjY