Abazadde ku kyalo Kiganda e Kireka mu Monicipaali y’e Kiira, basobeddwa olw’omusajja abadde yeeyita omusomesa okudda ku baana baabwe okubasobyako.
Abazadde, bagamba nti omusajja ono, abadde amanyikiddwa nga Musiraamu Nsubunga ng’ali mu gy’obukulu 50, era abadde mutuuze mu kitundu kyabwe.
Wabula wakati mu kulwanyisa Covid-19 ng’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agaddewo amassomero, Musiraamu, abadde asomesa abaana mu kazigo ke kyokka abadde asomesa bawala bokka.
Mu kiseera kino Musiraamu aliira ku nsiko, oluvanyuma lw’okusobya ku baana 5 kw’abo baabadde asomesa.
Abaana abasobezeddwako, bali wakati w’emyaka 5 – 12 nga kuliko abali mu kibiina eky’okuna (P4) basatu (3), mu kibiina eky’okusatu (P3) omu (1) ssaako ne Middle Class omu (1).
Abamu ku baana wakati mu kulukusa amaziga, bagamba nti Musiraamu, yabasuubiza ebintu eby’enjawulo omuli swiiti ssaako n’okubatta singa bategezaako omuntu yenna.
Ate omwana omulala ali mu gy’obukulu 8, agamba nti Musiraamu, yamusaba okumutwalira amazzi awaka, kyokka olwatuuka mu nnyumba, namusobyako.
Ate maama w’omu ku baana abasobezeddwako Mary Kirumba, agamba nti wadde baddukidde ku Poliisi okuyambibwa, alipoota y’abasawo ziraga nti abamu ku baana batandiise okuvunda ebitundu by’ekyama.
Maama Kirumba, awanjagidde Poliisi okwongera amaanyi mu kunoonya Musiraamu, nga betaaga obwenkanya.
Ku nsonga ezo, Mayanja David omu ku bannamateeka b’eddembe ly’obuntu, agamba nti okunoonyereza kulaga nti Musiraamu tabadde musomesa wabula abadde kayungirizi wa ttaka n’amayumba.
Mayanja agamba nti abaana betaaga obwenkanya nga tebagenda kutuula, okutuusa nga Musiraamu akwattiddwa.
Ate Afande Wandela okuva ku Poliisi e Kireka, agamba nti wadde fayiro zaguddwawo ku misango gy’okusobya ku baana abato, emisango okutambula gyonna, Musiraamu, balina okumukwata.
Mungeri y’emu agambye nti abamu ku bazadde bagaanye okuwa Poliisi obujjulizi ku misango gy’okusobya ku baana baabwe nga bagamba nti kiyinza okutataaganya endowooza y’abaana baabwe ssaako n’abatuuze bonna okutegeera nti abaana, basobezeddwako.
Ate Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya Musiraamu kwe kulabula abazadde okufaayo okwekeneenya abantu, abayambako mu kusomesa abaana baabwe mu kiseera kino ng’amassomero gakyali maggale.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=MnXGUpPzDjg