Poliisi y’e Kalungu eri mu kunoonya Kansala Charles Mutebi owe ggoombolola y’e Kalungu Rural ku misango gy’okusobya ku mwana ali mu gy’obukulu 14.
Kansala Mutebi, nga ye muwandiisi ku nsonga z’ebyenjigiriza ne by’obulamu mu ggoombolola y’e Kalungu, yasobya ku mwana era amangu ddala yamusuubiza okumutta.

Omwana agamba nti Kansala Mutebi, yali musomesa we mu kibiina eky’okutaano (P5) era yamusobyako mu September, 2021 mu makaage ku kyalo Kaliiro e Kalungu.

Omwana agamba nti Kansala Mutebi yamusaba okukima konteyina mu nnyumba, okumugulira emmere, okuva ku Resitolanti ya nnyina.
Amangu ddala ng’ayingidde mu nnyumba, Kansala Mutebi yaggalawo oluggi namukuba kalifoomu eyali mu Katambala, era yagenda okudda engulu nga yenna ali bwereere amaze okumusobyako era nga atonnya musaayi.
Taata w’omwana Baptista Ddungu myaka 40, agamba nti fayiro y’omusango yagguddwawo ku Poliisi y’e Kalungu.
Taata agamba nti wadde Poliisi yakkiriza okuyingira mu nsonga ze, okunoonyereza kutambudde kasoobo nnyo.
Ate 100.2 Galaxy FM bw’ebadde ewayamu n’omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka Muhammad Nsubuga agamba nti mu kiseera kino, Poliisi eri mu kunoonya Kansala Mutebi ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Nsubuga agamba nti tewali muntu yenna ali waggulu w’amateeka wadde mukulembeze.
Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Buikwe, egamba nti embeera eri mu kitundu kyabwe, y’emu ku nsonga lwaki n’ebikolwa eby’okusobya ku baana abato, byeyongedde.
Okusinzira ku Sarah Nanyunja, akulira ensonga z’amaka n’abaana ku kitebe kya Poliisi e Lugazi, embeera y’obutonde mu kitundu kyabwe omuli ebibira ebisukkiridde obungi ssaako n’abatuuze okujjumbira okulima ebikajjo, kyongedde okuwa omukisa abasajja basseduvuto, okulondoola abaana abato okubasobyako.
Nanyunja agamba nti abasajja beyambisa omukisa ng’abaana bagenda kumasomero, obutale, nga batumiddwa abazadde ate mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, omuze gweyongedde mu kitundu kyabwe.
Ate abaana abawala nga bakulembeddwamu Frahuma Nakamya, agamba nti abazadde abamu basukkiridde okweyambisa abaana ng’emu ku ngeri y’okulwanyisa obwavu, nga bangi bafumbiziddwa ku myaka emito.
Nakamya era agamba nti n’okusaddaka abaana kweyongedde, okubakozesa emirimu egy’abantu abakulu omuli okutambuza ennyanya ssaako n’abasajja okudduka oluvanyuma lw’okubasobyako ne bafuna embutto.
Ku nsonga ezo, 100.2 Galaxy FM bw’ebadde ewayamu n’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Buikwe Diana Mutasingwa, agamba nti olw’embeera, abazadde beyongedde okufumbiza abaana abato, okufuna ebintu ebyamangu.
Mutasingwa, agamba nti eno ye ssaawa, abakulembeze okuvaayo n’ebitongole byokwerinda okunoonyereza ekivuddeko embeera okusajjuka.