Poliisi y’e Katwe ekutte omusajja Nelson Mayanja, 30 ku misango gy’okutambuza vidiyo ez’obuseegu ssaako n’okutisatiisa eyali muganzi we.
Mayanja, yakubidde eyali muganzi we essimu, okumusaba okudingana nti yali mulungi nnyo mu nsonga z’omu kisenge, wabula omukyala ali mu gy’obukulu 28 yagaanye okusaba kwe.
Mayanja yavudde mu mbeera, era yasuubiza okuteeka vidiyo z’omukyala nga bali mu kaboozi ku mikutu migatta bantu.
Amangu ddala, yakutte ezimu ku vidiyo z’obuseegu, kwe kuzisindika eri taata w’omuwala nga bali mu kwesa mpiki.
Mayanja, yazzeemu okutegeeza eyali muganzi we nti singa agaana okumuddira, vidiyo zonna nga bali mu kusinda mukwano, agenda kuzitambuza ku mikutu migatta bantu.
Embeera eyo, yawaliriza omukyala okuddukira ku Poliisi y’e Katwe era Mayanja akwattiddwa nga essaawa yonna, bamutwala mu kkooti y’e Makindye.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti essimu ya Mayanja, musangiddwamu vidiyo mu sitayiro ez’enjawulo.