Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bulunzi bw’ebyennyanja Hellen Adoa alabudde bannayuganda abali mu mulimu gw’okusuubula ebyennyanja okwewala okwenyigira mu mize egimenya amateeka kuba tewali musuubuzi yenna gwe bagenda kuttira ku liiso.

Minisita agamba nti waliwo bannayuganda abali mu kweyambisa bannansi b’e Kenya, okukusa ebyennyanja omuli n’ebito, okwebalama okuwa omusolo, ekintu ekimenya amateeka.

Omwezi oguwedde ogwa October, 2021, Minisita Adoa abadde mu kusika omuguwa n’abasuubuzi bannansi b’e Kenya, oluvanyuma lw’abasirikale abali ku ddimu ly’okulwanyisa envuba embi, okukwata loole 4 ez’ebyennanja ebito.

Minisita Adoa ku mukolo

Minisita Adoa agaanye okuddiza abasuubuzi ebyennyanja ebito era byawereddwa abantu abali mu bwetaavu omuli n’ekitongole ky’amakkomera okuliisa abasibe.

Wabula Minisita Adoa bw’abadde e Jinja ku mukolo ogwa Fish Festival ku King Fishers e Jinja, agambye nti yagudde mu lukwe lwa bannayuganda okweyambisa bannansi ba Kenya mu kutambuza ebyennyanja mu ngeri y’ okubikukusa era kati ye ssaawa okulwanyisa ebintu byonna ebimenya amateeka.

Mungeri y’emu agambye nti tagenda kutisibwatiisibwa muntu yenna kuba ali ku mulimu gwa kuzaawo nnyanja n’okulwanyisa envuba embi mu ggwanga.

Minisita Adoa mungeri y’emu awanjagidde abavubi okwagala eggwanga lyabwe, obulamu okusinga okulowooza okwetta.

Minisita nga bamulambuza

Agamba olw’amaggye agali ku nnyanja okulwanyisa envuba embi, waliwo abavubi abatya okukwattibwa ne basalawo okwesuula mu nnyanja, ekintu ekikyamu.

Minisita era asabye amaggye agali ku nnyanja okukomya okweyambisa obusuungu obusukkiridde ku bantu abali ku nnyanja abali ku mmere ya leero.

Ku mukolo, Minisita yasobodde okusomesa abavubi obulabe obuli mu nvuba embi omuli eggwanga okufiirwa ssente, ennyanja eyinza okuggwamu ebyennyanja.

Minisita Adoa alabudde abavubi

Omukolo gw’akuziddwa mu ngeri ya ‘Science’ era abamu ku bakulembeze abagwetabyeko mwe muli n’omubaka omubaka owe Bugweri Rachel Magoola eyakuyimbira Obangaina.

Magoola agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka Palamenti okukola etteeka, erigenda okuyamba abavubi n’abasuubuzi okweyagalira mulimu gwabwe ogw’ebyennyanja.

Mu kiseera kino omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni, agamba nti wadde abavubi balina eddembe lyabwe ku nnyanja, tewali muntu yenna alina kwenyigira mu nvuba mbi era y’emu ku nsonga lwaki yateeka amaggye ku nnyanja.

Museveni agamba nti amaggye gakoze bulungi nnyo kuba kati omusolo oguva mu byennyanja gweyongedde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=D2zg90M11OE