
Kyaddaki abayimbi okuli Rema Namakula, Mesach Ssemakula, Dr Hilderman, Joanita Kawalya, Ziza Bafana ne Wilson Bugembe bafulumiza vidiyo y’oluyimba “Buvunayizibwabwo”.
Oluyimba lugendereddwamu okubiriza abantu bonna okuvayo okwenyigiramu okutumbula ebyobulamu mu ggwanga lyona.
Mu luyimba, mulimu obubaka obukubiriza abantu bonna okwekebeza siriimu n’okwekuuma, okwetanira okukozesa enkola y’ekizaala gumba n’okusaba Gavumenti okuteeka ssente ezimala mu byobulamu.
Abayimbi abbo, balondebwa ekibiina kya PATH ekikola ogw’okulwanirira obulamu bw’abantu bayimbe ennyimba ezisomesa abantu ku by’obulamu okwewala enjaga, okuzaala abaana obulungi, okwewala endwadde na ddala siriimu n’ebirala.
