
Omuyimbi Feffe Bussi ayongedde okulaga nti mu kisaawe ky’okuyimba y’omu kwabo abavubuka abato abalemeddeko wadde ennyimba ze bangi ku bannayuganda tebazimanyi bulungi.
Feffe Bussi ku ntandikwa ya 2018, yayingirawo n’oluyimba “Who Is Who” era yalumbagana abayimbi bangi ddala omuli Fik Fameica, Gravity Omutujju, nti bonna bakyali baana bato nnyo mu kisaawe ky’okuyimba era balina kwebuuza ku ye.
Wabula era ayingizaawo oluyimba olulala olutumiddwa “Iddi Amin Dada”.
Mu luyimba lwo, Feffe Bussi yewadde ebitiibwa byona ebiweebwa ekitongola ky’amaggye omuli Field marshal, General n’ebitiibwa ebirala.

Mungeri y’emu agambye nti ye muyimbi wanjawulo nnyo nga tayinza kusangibwa ku lukalala lw’omuyimbi Bebe Cool lwe yafulumya ku ntandiikwa ya 2018 olulambika abayimbi abasing okukuba ennyimba mu mwaka 2017.
