Ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya (CID) nga kyegattiddwako Poliisi y’e Katwe, bakoze ekikwekweeto ku Linca Hotel e Ndeeba, gye bakwattidde abantu 6 ku misango gy’okwenyigira mu kutambuza ebicupuli bya ddoola.

Abakwattiddwa kuliko Muliisa Robert Ivan, omutuuze we Mpererwe, Asiimwe Hillary Mark okuva Namasuba Kikajjo, omukyala Tukwasibwe Rosemary omutuuze we Kamwenge Rugonjo.

Abalala abazuuliddwa amannya kuliko Gatete Geofrey nga mutuuze mu zzooni y’e Katale e Kyebando era basangiddwa n’ebicupuli bya ddoola 320,000.

Okusinzira ku Poliisi, abakwate baludde nga benyigira mu kutunda n’ebicupuli bya ddoola ku bbeeyi eya wansi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era Poliisi ebadde ebanoonya ebbanga eriwerako.

Mu kukwattibwa, Poliisi esobodde okuzuula seefu egambibwa okweyambisibwa mu kutambuza ebicupuli ssaako okubikweka.