
Omuyimbi Diamond Platnumz mu ggwanga erya Tanzania ayolekedde okuvundira mu kkomera ku misango egimuguddwako egy’okusaasaanya obuseegu nga yeyambisa emikuttu migatta bantu okuli yintanenti, whatsapp, facebook n’ebirala (Social Media).
Platnumz amanyikiddwa nnyo mu Africa olw’ennyimba ze ezenjawulo omuli Solome, Number One, Eneka n’endala ate mu Uganda amanyikiddwa mu ngeri ezenjawulo kuba abadde bba w’omukyala Zari Hasan era balina abaana wadde bafunye obutakaanya.
Wabula ku ntandiika yasabiti eno ku Mmande, Platnumz yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulaga omukwano gwe n’omukyala omuzungu era balabiddwako nga benywegera nga Platnumz tali mu saati era ng’ali mu ssannyu eritagambika.
Wabula yakwattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri era okusinzira ku minisita w’amawulire mu ggwanga erya Tanzania Harrison Mwakyembe, Poliisi etandiise okunoonyereza ku Platnumz ku misango gy’okusaasaanya obuseegu.
Minisita Harrison bw’abadde mu Palamenti agambye nti, kimenya amateeka mu ggwanga erya Tanzania omuntu yenna okweyambisa Social Media, okusaasaanya obugwenyufu era abantu bonna abali mu mbeera eyo bagenda ku kwattibwa.
Okusinzira ku ssematteeka w’eggwanga erya Tanzania, singa omuyimbi Platnumz, emisango gimusinga, wakusibwa emyezi 12 oba okuwaayo ssente obukadde 5 eza Tanzania oba byombi.
https://www.youtube.com/watch?v=me2NDM_Hgu4
