Kafyu weeraba, Palamenti ekiggadde ku lw’amaanyi ga Kadaga era Gavumenti erina sabiiti eno okusalawo.

Palamenti ekangudde ku ddoboozi ku nsonga za Kafyu, eyatekebwawo omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu Gwokusatu omwaka oguwedde ogwa 2020 ng’emu ku ngeri eziyinza okuyambako mu kutangira ebikolobero wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Mu Palamenti akawungeezi ka leero ebadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Alitwala Kadaga, omubaka we Kilak eyamaserengeta (South) Gilbert Oulanya agambye nti ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye olukoona essaawa 3 eza kafyu, bagutwala ng’omukisa okunoga ensimbi mu bantu abasangibwa nga batambula mu ssaawa ezo.

Omubaka Oulanya yegatiddwako ow’e Kawempe North Latif Ssebaggala, okutegeeza nti amakulu, agatekesaawo kafyu tegakyaliwo era Pulezidenti Museveni agwanidde okumugyawo.

Agamba nti abasirikale bagufudde mugano gwakunoga nsimbi nga befudde abateeka emisanvu mu kkubo, okuziyiza abatambula mu ssaawa za Kafyu.

Sipiika Kadaga ku nsonga za Kafyu

Ate Sipiika Kadaga ku nsonga za Kafyu, agambye nti bangi ku bannayuganda bafuna obuzibu okutambula n’okusingira ddala abatambula engendo empavu okuva mu byalo okudda mu kibuga, olw’okutya abasirikale okubakwata.

Awagidde ekya Kafyu, okugibwawo nga mu kiseera kino aweddemu amakulu.

Ate Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa asuubiza nti akakiiko akateekebwawo okulwanyisa Covid-19 kasuubira, okusalawo ku nsonga eyo, era agumiza eggwanga okusigala nga bakakamu.

Nakabirwa agamba nti Kabinenti eyatudde ku Mmande, yawadde akakiiko akalwanyisa Covid-19 omukisa okuddamu okwekeneenya obukwakulizo obuliwo wakati mu kutangira abantu okulwala.

Mungeri y’emu n’omubaka wa Monisipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda alangiridde okuvuganya ku bwa sipiika wa Palamenti.

Ssemujju Nganda ayagala bwa Sipiika bwa Palamenti

Ssemujju mu kiseera kino ye mwogezi w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) era Nampala w’oludda oluvuganya mu Palamenti, agamba nti mu Palamenti ye 11, ye muntu omutuufu agwanidde okuba sipiika okusobola okukomyawo ekitiibwa kya Palamenti.

Palamenti yakulonda mu May sipiika n’omumyuka we era Ssemujju okuwangula, alina okumega Rebecca Alitwala Kadaga myaka 64 ali mu ntebe nga sipiika mu Palamenti ye 10 era agamba nti akomawo okuddamu okwesimbawo ssaako ne Jacob Oulanyah myaka 55 abadde amyuka Kadaga mu Palamenti ye 10 kyokka agamba nti naye ayagala bwa sipiika.

Ssemujju eyali munnamawulire mu Palamenti era mu 2011 yawumula emirimu gy’okusaka amawulire okwesimbawo ng’omubaka we Kyadondo East ku kaadi ya FDC era yawangula.
Oluvanyuma Gavumenti yateekawo Monisipaali y’e Kira okuva ku Kyadondo East mu 2016 era Ssemujju yaddamu okuwangula.
Nga 14, Janwali, 2021, Ssemujju yazzeemu okuwangula ng’omubaka we Kira.