Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga erya Kenya, Uhuru Kenyatta ayongedde okulaga abazungu nti mu ggwanga lye, ebisiyaga tebikirizibwa.

Kenyatta yabadde ku mukutu ogwa CNN n’omukyala Christiane Amanpour ku Lwokutaano era ku nsonga y’ebisiyaga agamba nti ye tayinza kubikiriza mu Kenya.

Mungeri y’emu akatiriza nti ebisiyaga siyensonga bannansi ba Kenya abasuuka obukadde 40 gye balina okutesaako kuba tebikirizibwa mu buwangwa wadde okutyobola eddembe ly’obuntu.

Mu lungereza, Kenyatta yagambye nti “I want to be very clear, I will not engage in any subject that is not of any major importance to the people and the Republic of Kenya. This is not an issue of human rights, this is an issue of society, of our own base as a culture as a people regardless of which society you come from.