
Omu ku bayimbi abasinga obunene mu ggwanga era abakoze nnyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba mu Uganda Jose Chameleone ayongedde okulaga nti muntu w’abantu.
Chameleone musajja akoze nnyo okutunda Uganda mu nsi yonna ng’ayita mu kuyimba Oluganda, Oluzungu, Oluswayiri n’ennimi endala.
Ennaku zinno abadde ennyo mu mawulire ku bigaambibwa nti yakola effujjo mu kwanjula kw’omuyimbi Catherine Kusasira mu disitulikiti y’e Luweero omuli okumansamansa ssente eri abatuuze n’ekigendererwa eky’okukyankalanya omukolo n’okulya eswagga ku muyimbi era omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) kuba yalemwa n’okumubuzaako.
Wabula Chameleone agambye nti talina buzibu eri abayimbi bonna era Kusasira yasiima nnyo kuba y’omu kwabo abali ku mukolo gwe.
Mungeri y’emu agambye nti talina buzibu bwona n’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu kuba muyimbi munne, bavudde wala nnyo era tawali nsonga yonna lwaki tebakwatagana.

Chameleone agamba nti okumansamansa ssente yakikola kuba yalina essannyu olwa mukyala we Atim Daniella okumuzaalira omwana omuwala.
https://www.youtube.com/watch?v=K_7aqz15VGQ
