
Omuyimbi David Lutalo ayuugumizza ekibuga London mu ggwanga erya Bungereza ku Royal Regency Hotel.
Lutalo mu Uganda y’omu ku bayimbi abayimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba era bwe yabadde mu kukyamula abadigize, yasobodde okuyimba ennyimba ze zonna ezakyamudde abantu bonna.
Wadde byana biwala by’alinye ku siteegi okulya obulamu ne Lutalo era byona obwedda bisembeza emibiri byabyo ku fulaayi nga byagala sikwizi.
Lutalo alina ennyimba mpitirivu ddala omuli Kwasa, Nkwagalira ddala, Ujuwe, Gunsitula, Katonda Wange, Wooloolo, n’endala.
https://www.youtube.com/watch?v=7m4_HhlLnKM
