
Poliisi ekutte omukyala n’abaana babiri (2) ku by’okutta kitaabwe eyali omukozi mu kampuni ya Daily Monitor Abel Katende.
Okusinzira ku Poliisi, omukyala n’abaana bekobaanye okutta Katende basobole okweza eby’obugagga byona.
Katende abadde yabula wiki bbiri eziyise kyoka omulambo gwe gwazuliddwa, mu kabuyonjo mu maka ge mu bitundu bye Kasangati ekyaviriddeko okwata omukyala n’abaana.
Abakwatiddwa bakiriza eby’okutta Katende basobole okweza eby’obugagga era kigambibwa nti omugenzi abadde alina obutakaanya ne Famire.
Abakwatiddwa kuliko omukyala Janet Namugenyi Katende n’abaana babiri (2) okuli Lilian Najuma ne Gideon Kaya ng’oluvanyuma lw’okutta kitaabwe ne batwala omulambo ku kyalo Rutete mu ggombolola y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso negusulibwa mu kabuyonjo, okubuzabuza obujulizi.
Ebitongole byokwerinda okuli ekilwanyisa abazigu b’emmundu, ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Poliisi y’abazinya mwoto n’ebirala, basobodde okumenya kabuyonjo okugyayo omulambo
Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Patrick Onyango agambye nti balina okunoonyereza okukwata abantu bonna ababadde mu kikolwa ekyo.
