
Omuyimbi Ronald Magada (Maro) ayuugumiza Jinja era abadigize bonna mu kitundu bavuddeyo nga bakiriza.
Maro yabadde mu kivvulu kya Purple Party e Jinja ku Transafrica ekyategekeddwa Douglas Lwanga owa NBS.
Bwe yalinye ku siteegi, enduulu yasanikidde ekifo kyona era abantu bangi nnyo bawuliddwako nga bagamba omwana waffe gw’asinga.
Maro yasobodde okweyambisa omukisa gwo okulaga nti mu bwakyabazinga bwa Busoga ye muyimbi asinga okukuba omuziki kuba yasobodde okuyimba ennyimba ze zonna omuli Kamboyine, Sulabulungi, Kyokoba, Nkwendha n’endala.
