
Olunnaku olw'eggulo ku Lwomukaaga nga 19, Mayi, 2018, ensi yonna yawumye ate mu ggwanga erya Bungereza kyayitiridde ng'Omulangira Harry mutabani w’Omumbejja Diana Spencer eyafiira mu kabenje k’emmotoka ng’ali ne muganzi we Dodi Fayed mu kibuga Paris ekya Bufalansa nga August 31, 1997, ng'awasa Meghan Markle muwala wa Thomas Markle enzaalwa ya Mexico.

Omulangira Harry yayingidde mu kkanisa ya St George's Chapel e Windsor mu Bungereza okugattibwa mu bufumbo obutukuvu ng’atambulira ku kayimba akaayimbirwa bazadde be, omumbejja Diana Spencer ne Charles nga bagattibwa wakati mu kitiibwa.
Akayimba ka Candle in the wind ke kaayimbibwa ne mu kuziika nnyina nga September 6, 1997 era tayinza kulwelabira mu bulamu bwe.

Oluvanyuma nga bagatiddwa, Omulangira Harry n'omukyala Meghan Markle bayisiza ebivvulu okumpi n'olubiri ekyawadde abantu essanyu.
Mu kugatibwa mu kanisa, kwetabiddwako abagenyi 600 bokka abayitiddwa.
