Maama w'omugenzi Jane Kasubo
Maama w'omugenzi Jane Kasubo

Maama w'omugenzi Moses Ssekibogo eyali amanyikiddwa ng'omuyimbi Mowzey Radio akabidde mu kkooti Entebbe era afulumye bamukwatiridde olw'ennaku gy'alimu ey'okuufiirwa mutabani we nga ne kkooti esukkiridde okwongezaayo omusango gw'abantu abakwatibwa ku by'okufa kw'omwana we.

Kinnajjukirwa, Radio yafira ku Case Clinic mu Kampala, nga 1, Febwali, 2018 oluvanyuma lw'okubwa  kanyama ku bbaala ya De bar Entebbe n'afuna ebiwundu ku mutwe ebyamuviirako okufa kwe.

Omugenzi Mowzey Radio
Omugenzi Mowzey Radio

Amangu ddala, Poliisi yakwata Godfrey Wamala amanyikiddwa nga Troy, omutuuze w’e Kyengera mu ggombolola y’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso, natwalibwa mu kkooti esokerwako Entebbe era nasindikibwa ku limanda mu kkomera lye Kigo mu disitulikiti y'e Wakiso ku misango gy'obutemu.

Wabula olunnaku olw'eggulo ku Lwokusatu, 23, Mayi, 2018, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Markbeth Agumenitwe, lwasabye omulamuzi Mary Kaitesi Lukwago okubongera obudde, okusobola okukomekereza okunoonyereza kwabwe.

Troy mu kkooti
Troy mu kkooti

Omulamuzi Kaitesi yayongezaayo omulundi ogwomunaana, okutuusa nga 18, June, 2018, ekyayungudde amaziga famire y'omugenzi Radio.

Ab'oluganda ne mikwano gy'omugenzi Radio nga bakulembeddwamu maama Jane Kasubo baakukkulumidde ekitongole ekiramuzi okudibaga omusango gwabwe ate ng'omwana wabwe yattibwa.

Maama Kasubo yagambye nti "Ssimanyi oba kkooti eneeramula amazina n'obwenkanya ku bantu abatta omwana wange kuba ne bbaala ya De Bar eyavirako omwana we okufa nzigule. Buli lunnaku bagamba banoonyereza, bananonyereza paka ddi?".

Mungeri y'emu awanjagidde omukulembeze w'eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo okuyingira mu nsonga ze kuba Radio yali mukwano gwe nnyo.

Ate mikwano gy'omugenzi, banokoddeyo abamu ku bantu abagambibwa nti bali mu lukwe okutta Radio era basabye Poliisi okuddamu okunoonyereza bonna bakwatibwe.

https://www.youtube.com/watch?v=lJ7OADEGvTo