
Omuyimbi Sheebah Kalungi ne Tip Swizzy bali mu ntekateeka okufulumya vidiyo yabwe empya.
Gye buvuddeko Sheebah ne Swizzy bayingizaawo oluyimba “Munyiiza” era mu kiseera kino bali mu kukwata vidiyo y’oluyimba olwo.
100.2 Galaxy FM Zzina esobodde okufuna ekimu ku kitundu kya vidiyo ekiraga nti essaawa yonna vidiyo efuluma.
Mu Uganda, Sheebah y’omu ku bayimbi abakyala abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba era asobodde okuyamba abayimbi bangi nnyo okumanyika omuli n’omuyimbi Ykee Benda mu luyimba Farmer.