Ed Cheune
Ed Cheune

Omugagga Ed Cheune owa Rich Gang ayongedde okulaga nti alina ssente wadde bangi ku bannayuganda bazalawa.

Ed Cheune ne munne Nasser basobodde okulaga eswaga ku luyimba lw’omuyimbi Fik Fameica olwa “Property”.

Fik Fameica
Fik Fameica

Omugagga Ed Cheune ne munne abali mu kibuga Dubai balazze kye bayita ssente omuli eby’obunywa ebyebeeyi.

Embeera eyo, ewaliriza omuyimbi Fameica okwebaza omugagga Ed Cheune ku mukutu gwa Instagram okuwagira ennyimba za bannayuganda n’okusingira ddala ennyimba ze.

https://www.instagram.com/p/BkaNYFxBGlf/?taken-by=iamfikfameica