
Irene Ntale ayongedde okulaga nti y’omu ku bakyala abalina talenti y’okuyimba era omu kwabo abasobodde okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.

Ku lunnaku olwokutaano, Ntale yabadde ku Serena Hotel mu Kampala mu konsati “NtaleUnchained” era okuyingira basasudde 100,000 “Ordinary” ne 2,000,000 “VIP”, abantu babadde bangi ddala.
Ntale yasobodde okuyimba ennyimba ezenjawulo, ekyawadde abadigize essannyu.

Mu konsati, Bebe Cool ne Ntale ku siteegi bawadde abadigize essannyu mu kuyimba oluyimba Love Letter era Ntale yalaze omutima gw’ebbeere ku siteegi, ekyawadde Bebe essannyu.