Frank Gashumba ne Bryan White
Frank Gashumba ne Bryan White

Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda avuluze omugagga Bryan White (Brian Kirumira) era amulabudde okomya okweraga ne ssente kuba mwavu nnyo.

Gashumba yabadde ku Spark TV sabiti ewedde ku Lwokutaano mu pulogulamu Koona ne Miles Rwamiti nagamba nti mu nsi yonna abagagga tebayinza kulaga ssente zabwe ku mitimbagano gya yintaneeti nga facebook.

Agamba, Bryan White okugaana okusasula emmotoka gye bamuwole, kabonero akalaga nti talina ssente era musajja mwavu.

Frank Gashumba
Frank Gashumba

Bryan White yagula emmotoka ekika kya Range Rover Brabas ku doola za America 260,000 ezikunuukiriza mu kawumbi mu April wa 2018, nasasulako emitwalo 10 egya ddoola era sabiti ewedde emmotoka yasikiddwa Poliisi nga beyambisa emmotoka ya kasiringi ne bagitwala ku Poliisi y’e Kabalagala.

Embeera eyo, Gashumba agamba nti omuntu alina ssente tagula mmotoka nkadde era byona biraga nti Bryan White ali mu mbeera mbi.

https://www.youtube.com/watch?v=VEKbvy7TMYo