Poliisi etandiise okunoonyereza ekyavuddeko omuliro, ogwakutte ekimotoka ekyabadde kitambuza Tanka ennwanyi eyamaggye ga Uganda People’s Defence Force (UPDF) ku luguudo lw’e Mubende.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu kye Wamala Norbert Ochom, okunoonyereza okusokerwako kulaga nti omuliro gwavudde ku biziyiza, wabula nga tewali muntu yenna yalumiziddwa, nga ne Tanka eyabadde etwalibwa teyafunye kizibu kyona wadde okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Ochom agamba nti abakugu batandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko omuliro ogwo.