Omuyimbi Fik Fameica ayongedde okulaga nti alina talenti era abantu bonna bamwagala omuli abaana, abavubuka n’abantu abakulu.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokutaano, Fik y’omu ku bayimbi abakyamudde abadigize mu kivvulu ky’omuyimbi Bebe Cool ekya Golden Heart ku kisaawe e Kololo.

Mu kivvulu, Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yabaddeko ng’omugenyi omukulu era kyabaddeko abakungu bangi ddala ekiraga nti mu Africa yonna Bebe Cool ye muyimbi yekka akyaleese Omukulembeze w’eggwanga mu kivvulu.

Bebe Cool
Bebe Cool

Wabula Fik yasobodde okuyimba ennyimba ze okuli Property okukyamula abantu era bonna bakiriza nti omwana alina talenti kuba ne baminisita abenjawulo bakyamuse.

https://www.youtube.com/watch?v=xwURYAeKrhk