Mu Uganda Bebe Cool y’omu ku bayimbi abalina talenti era abakoze nnyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokutaano, Bebe yakoze likodi okuleeta omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu kivvulu era yasoose okukikola mu Africa yonna.

Bebe ku Siteegi
Bebe ku Siteegi

Mungeri y’emu ku siteegi, yasobodde okuwa omukisa mutabani we omukulu Allan Hendrick okuyimba mu kivvulu kya Golden heart e Kololo, mwagenda okuyambira abamu ku balwadde b’emitima okufuna obujjanjabi ebweru w’eggwanga.

Bebe Cool ne Allan ku Siteegic
Bebe Cool ne Allan ku Siteegi

Bebe alina emyaka 40 kyoka olunnaku olw’eggulo, yalaze nti alina talenti okusinga n’abavubuka abato abefuula nti bayimba.

https://www.youtube.com/watch?v=ldDxNofLL1k