Omubaka w’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ali mu kutya nti ebitundu by’ekyama byakoseddwa nnyo era biyinza obutaddamu kukola mirimu gyabyo.

Bobi yakwatibwa sabiti ewedde mu bitundu bya Arua, nasimbibwa mu kkooti y’amaggye mu bitundu bye Gulu era nasindikibwa ku Limanda mu kkomera ly’amaggye e Makindye okutuusa nga 23, August, 2018, olw’okusangibwa  n’ebyokulwanyisa omuli emmundu mu bukyamu ekimenya etteeka.

Bobi Wine
Bobi Wine

Wabula Bobi Wine era agambye nti ensigo bazabya, afuka musaayi, alumizibwa mu nkizi, embirizi nga byona byamutusibwako ebitongole ebikuuma ddembe.

Bw’abadde asisinkanyeko akakiiko ka Palamenti akatekebwawo sipiika Rebecca Alitwala Kadaga okulondola ensonga ze, Bobi Wine agambye nti yetaaga kutwalibwa bweru w’aggwanga okufuna obujanjabi kuba ali mu mbeera mbi.

Omubaka w’e Makindye West Aloysius Allan Ssewanyana y’omu ku babaka abakyalidde Bobi Wine mu kkomera e Makindye era atubulidde nti omusawo wa Bobi, akiriziddwa okwekebejja embeera omuntu we gy’alimu.

https://www.youtube.com/watch?v=gDeHmdfExV8