
Amyuka sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah avumiridde effujjo eryakoleddwa ku babaka ba Palamenti okuli Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine owe Kyadondo East ne Francis Zzaake ow’e Mityana.
Enkya ya leero, Oulanyah alambuddeko ababaka bombi, Bobi Wine mu kkomera ly’amaggye e Makindye ne Zzaake mu ddwaaliro e Rubaga gye yawereddwa e kitanda.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku ddwaaliro e Rubaga, Oulanyah agambye nti ababaka bombi bali mu mbeera mbi n’okusingira ddala Zzaake.
Mungeri y’emu agambye nti Bobi alina okulumizibwa mu mbirizi era bagenda kumutwala mu sikaani okumwekebejja.

Ku nsonga y’okutyobola eddembe ly’abantu, Oulanyah agambye nti Palamenti etekeddwa okulwanyisa ebikolwa ebyo kuba kyabadde kikyamu nnyo ababaka ba Palamenti okukubwa mu ngeri eyinza n’okuvirako okufa.
https://www.youtube.com/watch?v=deLPwQ3zuyw