
Ekibinja ky’abazinyi ekya Wembley olunnaku olw’eggulo bayugumizza abadigize mu kivvulu kya Zzina Sosh e Kyadondo Rugby Grounds.
Ekivvulu kya Zzina Sosh kitegekebwa 100.2 Galaxy FM Zzina buli mwaka.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, abayimbi bangi nnyo abakyamudde abantu omuli Gravity Omutujju, Spice Diana, Roden Y Kabaako, Fik Fameica n’abalala kyoka Wembley ne banne balaze nti balina talenti y’okuzina.

Ku ssaawa 11:40 ezakawungeezi, aba Wembley balinye ku siteegi era bambi bakyamudde abantu mu ngeri etasangika.