
Mu bayimbi abalina Work era Katonda be yawa ebitone, Mukiiza Frank amanyikiddwa nga Feffe Bussi y’omu ku bbo era olunnaku olw’eggulo mu kivvulu kya Zzina Sosh ku Kyadondo Rugby Grounds yakyamudde abadigize era bavuddeyo nga bakiriza.

Feffe Bussi muyimbi wa Lugaflow era bwe yabadde ayimba olunnaku olw’eggulo, yawanjagidde omutonzi omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa Bobi Wine okuyamba okuva mu kkomera kuba ali mu mbeera mbi.

Omuyimbi Feffe Bussi bwe yabadde ku siteegi, abadigize bonna bafunye ku ssannyu era yasobodde okuyimba ennyimba ze zonna.