
Kyaddaki omuyimbi Fille avuddeyo ku bigambibwa nti alina sirimu era mbu abantu bangi nnyo basobodde okulwaza.
Fille ali kwetekateeka kuba alina konsati nga 2, Febwali, 2018 ku Garden city mu Kampala.
Wabula bwe yabadde ku Record TV mu pulogulamu “Kiggunda” ekubirizibwa Luzze Anderson, yabuziddwa oba alina sirimu era mukwanukula yagambye nti yewunya abantu abasasanya ebigambo ebyo kuba tebalina byakola.
Mungeri y’emu yagambye nti ye muzadde era alina okwekuuma ate ne bba Mc Kats naye musajja alina abaana, ekitegeza alina okwekuuma.
https://www.youtube.com/watch?v=1bo_L7qgvXQ
